For whatever is born of God overcomes the world. And this is the victory that has overcome the world - our faith (1st John 5:4)
 

NEWSPAPER ARTICLES

   
LEKA ETTEEKA LIGENDE MU MAASO    
Victory Verse Of The Week
"What shall we then say to these things? If God be for us, who can be against us? "
(Rom 8:10, KJV )
Newspaper Articles

Museveni meets religious leaders. .

New Vision Q & A. .
Etteeka ly'Abalokole lya bukwakkulizo 64. .
Bible vs Koran. . .
Leka Etteeka Ligende mu Maaso.
Christian World News
a
a
a

Paasita Male, leka etteeka lijje

Nsomye ebiteeso bya Paasita Solomon Male mu Bukedde wa Ssande (May 4, 2008 ku page 20) ndabye nga kyeetagisa okuyamba Male, n'Abalokole bonna awamu.

Ekisookera ddala, ebiruma Paasita Male naffe byatuluma dda. Amalogo, obulaguzi, obufere, n'ebirala kimanyiddwa nti bikolebwa batali Balokole. Naye ate Uganda terina tteeka liziyiza bulaguzi, bulogo wadde okufera. Ate abakola ebyo ebitunyiiza balina ebiwaandiiko bya Gavumenti ebiva mu NGO Board nga n'okubalemesa tekisoboka anti bekweese mu tteeka eryassaawo ebibiina binnakyeewa.

Eno y'emu ku nsonga ezituwagiza etteeka eribalung'amya kubanga okuva mu NGO kireeta okwaawula bannakyewa n'abali ku nzikiriza (ababuulira enjiri). Mu kuvaayo awo nsuubira nga abalinga Kibwetere tebajja kusobola kwerimbika mu Balokole. Ate ne mu nzikiriza endala wazibu, bye baalekayo bye bikyaaliyo, wozzi nga bazzeemu ne babigondera.

Eky'okubiri, obungi bw'Abalokole buleeta obweeralikirivu mu ggwanga. Abalokole muli bangi bulala ensangi zino. Teri kingi kitatabula ne bweziba nsimbi! Bwe mutalung'amizibwa, mu nkola ennungamu ey'Amateeka, tukyaawulira ebikolobero bingi nga ebimu mubyeekoledde ebirala nga babeerimbiseemu! Bye mukoze musaanira okubonerezebwa, wabula ate bye babawayirizza mwejjeerezebwe! Era awo tteeka lye likolawo. Ye ate mpaawo magombe gazza, ne gyemuli mu NGO mufugibwa tteeka lwakuba abamu mu mmwe mugamba nti libanyigiriza! Era n'abalamuzi b'ojulira nabo bajja kukozesa mateeka.

Eky'okusatu, buli ayitibwa omulokole naye nga yasigala mu Ikirisiya y'Abasodokisi, Kereziya y'Abakatoliki, Omuzigiti, Ekkanisa ya SDA oba Church of Uganda oba asabira awaka, aba nga omuwala eyafumbirwa ate n'asigala ku luggya lwa kitaawe. Oyo aba tafumbirwanga ate eyanoba n'eyeyombekera naye aba takyaali mufumbo.

Ekisembayo, bangi ku basumba bammwe, tebalina webamanyiddwa nti we basumba era Mwami Male ggwe omu ku bo! Ekkanisa yo eri wa? Obatiriza wa era ddi? Ensi ekuwulirizza nnyo ku zi radio ne mu mpapula naye toyogerangako nga banno nti osangibwa wano, osabisa mu kifo gundi. Nze ssirabangako kapande ka Arise Church mu Uganda. Abakwogerako bagamba nti oli Paasita wa Bilifikeesi (soma briefcase pastor).

Yesu gwe weesibyeeko nti teyasaba lukusa kubuulira era y'omu yawa omusolo! Abaakuba Paulo embooko kasita baamanya nti Muruumi ne beenenya. Eby'Omwoyo kola, eby'Amateeka ka babikukolere tobimanyi.

Kati ggwe bw'olizuuka nti wali toli musumba oliba tofuuse mufere? Jjuuzi nnawulira abakunyumya e Kamwokya mbu osabira Makindye Church of Uganda. Era mbu boofisa bo bakulembeze mu kibiina ky'abaami eyo. Bakuwayiiriza? Oba toli Paasita, ani akusumba? Ye wagattirwa wa empeta mu bufumbo obutukuvu? Olaba obufere! Aba Operation Clean the House bakuyitako omulalu ne tubaboggolera bakuveeko.

Abalokole muyitiridde okutubuzaabuza. Towagira Mitala n'akakiiko ke. Serwadda omukyoomera. Kayanja wamukyaawa. Namutebi omuyita mulogo. Kayiwa wamugatta ne Kakande n'obayita abalimba. Banno aba Fellowship of Evangelicals nabo obeesammula. Olwo oli wa? Tolaba ng'etteeka lijja kubabikkula mwenna era buli omu adde awatuufu? Leka etteeka liggye. Ensi yabeetamwa naye temuwulira!

Buli alemwa okwegatta ne banne aba anoonya wakuddiza misango na bikolobero nga tewali amugambako. Abo b'ogamba nti badduka mu madiini nga tebaagala bukwakkulizo, ate nebabusaanga eno nti banaddayo kiraga bulazi nti batya discipline.

Etteeka teriyinza kubikkirira bibi, lijja kubatugolera ettumba. Gasiya gwe mwassa mu bitanda ka aveeyo!

Nze mmanyi otegedde! Ndi Jeff Wokulira e Misigi - Mityaana Rd

   
     
Copyright © 2008 Victory Christian Centre