For whatever is born of God overcomes the world. And this is the victory that has overcome the world - our faith (1st John 5:4)
 

NEWSPAPER ARTICLES

   
ETTEEKA LY'ABALOKOLE LYA BUKWAKKULIZO 64    
Victory Verse Of The Week
"What shall we then say to these things? If God be for us, who can be against us? "
(Rom 8:10, KJV )
Newspaper Articles

Museveni meets religious leaders. .

New Vision Q & A. .
Etteeka ly'Abalokole lya bukwakkulizo 64. .
Bible vs Koran. . .
Leka Etteeka Ligende mu Maaso.
Christian World News
a
a
a

Bya Terah Kaaya | Published on: Saturday, 12th April, 2008

NG'ABALOKOLE bali mu kaweefube w'okulaba nga batongozebwa nga enzikiriza eyeetongodde, bannamateeka baabwe babaze ebbago omuli amateeka ge baagala abalokole okutambulirako.

Nga bayita mu kakiiko ka balooya bataano okuli Herbert I. Kawesa omuwandiisi mu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku balamuzi, Flavia Munaaba Nabugere, Naava Nabagesera, Joybel Kakaire ne Roy Byaruhanga, baagala gavumenti etunuulire ebbago lyabwe esinziire okwo okubaga etteeka eryenkomeredde mw'eneeyita okutongoza enzikiriza yaabwe.

Ebbago lyabwe ligamba nti: Abalokole basaana batongozebwe ng'enzikiriza eyeetongodde era ne balaga n'amatabi mwenda mwe baneegattira omuli Churches in Communities (CIC), Evangelical Fellowship of uganda (EFU), National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches (NFBAPC), Christian Fellowship Churches and associates (CFCA), Christian Life Churches(CLC), Evangelical Church World Vision (ECWW), Victory Centre Churches (VCC) ne Association of Independent churches and denominations.

Baagala ebibiina amatabi mwe beegattira galeme kusukka 12 ng'abo abatayingira mw'ago agamenyeddwa waggulu ba ddembe okutondawo amalala asatu gawere 12.

Baagala wassibwewo ekibiina ekifuga abalokole mu ggwanga ng'abakulembeze baakyo baggyibwa mu bakulembeze b'amatabi gali agamenyeddwa waggulu.

Ekibiina ekibafuga baagala kibe n'obuyinza okulabirira n'okukugira ebikolebwa amatabi g'abalokole gonna mu ggwanga, nga kiwa gavumenti amagezi ku bikwatagana n'abalokole era nga kikola amateeka agafuga enneeyisa ya bapasita.

Baagala abakulembeze b'ekibiina kino ekibafuga okuba n'obuyinza okuyingiza oba okugaana okutongoza kkanisa yonna eyagala okwewandiisa mu bulokole. Nga basobola okusazaamu obwammemba bw'ekkanisa etalina bisaanyizo.

Ebbago lyabwe era ligamba nti abanaasooka mu bukulembeze bw'ekibiina kino tebandisussizza myaka esatu ku bukulembeze naye nga basobola okwongerwayo emyaka ebiri bwe baba bakoze bulungi. Ababaddirira olwo bafugirenga emyaka ebiri nga tebaddamu kulondebwa.

   
         
 
Continue > >    
         
Copyright © 2008 Victory Christian Centre